New Vision Podcast
New Vision Podcast
[Luganda] Okuzimba obwesigwa, ebitone n'obuyiiya okumalawo malaria
Kiki ekyakusikiriza okukuguka mu kunoonyereza ku kirwadde ekireeta omusujja gw’ensiri?
Ebituukiddwako mu kunoonyereza ku kirwadde kya Malaria.
Okunoonyereza kwemukoze kuyambye kutya okutereeza mu nkwata y’ekirwadde?
Malaria ayimiridde atya mu ggwanga era omugeraageranya otya ku myaka egiyise?
Bitundu ki ebisinga okutawaanyizibwa obulwadde obuleeta omusujja gw’ensiri?
Malaria yatangirwa atya luli bwogeraageranya bwekiri leero?
Enkola y’okukendeeza omusujja gw’ensiri etuukiddwako etya?
Kika kya bantu ki ekisinga okutawaanyizibwa obulwadde buno era babweriinde batya?
Mugaso ki oguli mu kukozesa eddagala eritangira omusujja awamu n’enteekateeka y’okukendeeza obungi ensiri
Vaccine ekubibwa abaana okubatangira okukwatibwa omusujja gw’ensiri ekoze etya?
Nteekateeka ki ereeteddwa okusomesa abantu okwerinda omusujja gw’ensiri ku byaalo?
Uganda egeraageranyizibwa etya mu mawanga ga Africa ne munsi yonna okulwanyisa Malaria?
Lwaki olowooza okunoonyereza ku Malaria kikyetaagisa n’amaanyi
Nkola ki empya ezireeteddwa okukebera n’okujjanjaba Malaria?
Nnyonnyola omulabi obuyiiya bwa gene drive kyebuli ne bwebukola?
Target Malaria Project egenda kukozesa etya ensiri zeyalula kiyite gene drive?
Abantu balina kutya ki eri ensiri ezaaluddwa era bagumye ate obawe n’amagezi okwongera okwerinda Malaria
Olowooza okumalawo malaria mu ggwanga kisoboka?
Dr. Martin Lukindu, omukugu mu kunoonyereza ku nsiri Target Malaria - Uganda